1 Bassekabaka 9:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Ne baseeyeeya okutuuka mu Ofiri[a], ne baleeta ttani kkumi na nnya eza zaabu eri Sulemaani.
Read full chapterFootnotes
- 9:28 Ofiri Bangi bagamba Ofiri kyali kibuga ku myalo gya Buwalabu oba ku mwalo gwa Somaliya, oba Buyindi oba Zimbabwe. Tekimanyiddwa bulungi.
1 Bassekabaka 10:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)N’agabira kabaka ttani nnya eza zaabu, n’ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n’amayinja ag’omuwendo. Tewaaleetebwa nate byakaloosa byenkana awo obungi ng’ebyo kabaka omukazi ow’e Seeba bye yawa Sulemaani.
Read full chapter
1 Bassekabaka 10:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obugagga bwa Sulemaani
14 (A)Obuzito obwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwali ttani amakumi abiri mu ssatu,
Read full chapter
1 Bassekabaka 10:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 Ebikompe byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, ne byonna ebyali mu lubiri lwe olwakolebwa mu kibira kya Lebanooni. Tewali kyakolebwa mu ffeeza, kubanga ffeeza teyali ya muwendo nnyo mu biro ebyo.
Read full chapter
2 Samwiri 19:35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
35 (A)Mpezezza emyaka kinaana, olowooza nkyayinza okwawula ekirungi n’ekibi? Olowooza nga omuddu wo akyayinza okutegeera ky’alya ne ky’anywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi g’abasajja abayimba n’abakyala abayimbi? Lwaki nzitoowerera mukama wange kabaka?
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.