1 Samwiri 25:38
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
38 (A)Oluvannyuma lw’ennaku nga kkumi, Nabali n’afa ekikutuko.
Read full chapter
Abaruumi 12:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama.
Read full chapter
Olubereberye 47:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Ekiseera eky’okufa kwa Isirayiri bwe kyali kisembedde, n’ayita mutabani we Yusufu n’amugamba nti, “Obanga nfunye ekisa mu maaso go teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange, ondayirire ng’onompulira n’otonkuusakuusa: tonziikanga mu Misiri,
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 31:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebiragiro bya Mukama Ebyasembayo eri Musa
14 (A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Obudde bwo obw’okufa busembedde. Yita Yoswa, mujje mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.”
Read full chapter
Zabbuli 37:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Naye Mukama asekerera ababi,
kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.
1 Samwiri 31:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 Sawulo bw’atyo, ne batabani be abasatu, n’eyasitulanga ebyokulwanyisa bye ne basajja be bonna ne bafa ku lunaku olwo lwe lumu.
Read full chapter
2 Samwiri 1:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Dawudi ategeezebwa Okufa kwa Sawulo
1 (A)Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi n’agenda n’abeera e Zikulagi n’amalayo ennaku bbiri, ng’amaze okusaanyaawo Abamaleki.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.