2 Bassekabaka 15:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga: by’e Iyoni, n’e Aberubesumaaka, n’e Yanoa, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Gireyaadi n’e Ggaliraaya, n’ensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo n’abatwala nga basibe e Bwasuli.
Read full chapter
Isaaya 2:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Wayabulira abantu bo
ab’ennyumba ya Yakobo,
kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,
n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,
era basizza kimu ne bannamawanga.
Yeremiya 2:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Kaakano olowooza onooganyulwamu ki
okugenda okukolagana ne Misiri?
Olowooza kiki ky’onoganyulwa
bw’onogenda okukolagana ne Bwasuli?
Ezeekyeri 16:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Weetaba mu bikolwa eby’obwenzi n’Abasuuli, kubanga tewamalibwa, ate n’oluvannyuma lw’ekyo n’otamatira.
Read full chapter
Koseya 10:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli
n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo.
Efulayimu aliswazibwa
ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.