2 Samwiri 4:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina omwana owoobulenzi eyalemala ebigere. Yalina emyaka etaano egy’obukulu, amawulire agakwata ku kufa kwa Sawulo ne Yonasaani bwe gaasaasaanyizibwa okuva mu Yezuleeri. Naye eyamulabiriranga bwe yamusitula, ng’adduka okumuwonya, omwana n’agwa n’alemala. N’erinnya lye ye yali Mefibosesi.
Read full chapter
1 Samwiri 18:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Awo Yonasaani n’atta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka.
Read full chapter
1 Samwiri 20:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Noolwekyo beera wa kisa eri omuweereza wo, kubanga wakola endagaano n’omuweereza wo mu maaso ga Mukama. Naye oba nnina omusango, gw’oba onzita. Lwaki ompaayo eri kitaawo?”
Read full chapter
1 Samwiri 20:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)tokendeezanga ku kisa so tolekangayo kulaga bwesigwa eri ennyumba yange, Mukama ne bw’alizikiriza buli mulabe wa Dawudi ku nsi.”
Read full chapter
2 Samwiri 9:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Dawudi n’amugamba nti, “Totya kubanga siireme kukukolera bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo. Nzija kukuddiza ettaka lyonna eryali erya jjajjaawo Sawulo, era onooliranga ku mmeeza yange.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.