Abaebbulaniya 11:39
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
39 (A)Naye abantu bano bonna abajjula okukkiriza tebaafuna kyasuubizibwa.
Read full chapter
Matayo 13:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Ddala ddala mbagamba nti, Waaliwo bannabbi bangi, n’abatuukirivu bangi abeegombanga okulaba ku bino bye mulaba, n’okuwulira bye muwulira kyokka ne batafuna mukisa ogwo.
Read full chapter
Olubereberye 23:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)“Ndi mugenyi era omutambuze mu mmwe, munfunire ekifo aw’okuziika, ndyoke nziikewo omuntu wange anve ku maaso.”
Read full chapter
Zabbuli 39:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ayi Mukama, wulira okusaba kwange,
owulire okukaaba kwange onnyambe.
Tonsiriikirira nga nkukaabirira.
Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze,
nga bajjajjange bonna bwe baali.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.