Amosi 6:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti,
“Neetamiddwa amalala ga Yakobo,
nkyawa ebigo bye,
era nzija kuwaayo ekibuga
ne byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”
Yeremiya 51:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)“Yimusa bendera mu ggwanga!
Fuuwa omulere mu mawanga!
Tegeka amawanga okumulwanyisa;
koowoola obwakabaka buno bumulumbe:
obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi.
Londa omuduumizi amulumba,
weereza embalaasi eziri ng’ekibinja ky’enzige.
Nakkumu 3:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Omuliro gulikulya,
ekitala kirikuzikiriza.
Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime.
Mweyongere obungi ng’enseenene,
mwale ng’enzige.
Yeremiya 50:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Mumukube olube ku buli ludda.
Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa,
n’ebisenge bye bimenyeddwa.
Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda,
mumwesasuzeeko;
mumukole nga bw’akoze abalala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.