Balam 11:36
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
36 (A)Awo muwala we n’amugamba nti, “Kitange weeyama eri Mukama. Kola ekyo kye weeyama eri Mukama Katonda, kubanga awooledde eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.”
Read full chapter
1 Samwiri 24:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Mukama alamule wakati wange naawe. Mukama akusasule ng’ebikolwa ebibi byonna by’onkoze bwe biri, naye nze siriyimusa mukono gwange ku ggwe.
Read full chapter
2 Samwiri 4:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Omutwe gwa Isubosesi ne bagutwalira Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo, eyayagala okukutta, guuguno. Leero Mukama awalanye eggwanga lya mukama waffe kabaka ku Sawulo n’ezzadde lye.”
Read full chapter
2 Samwiri 22:48
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
48 (A)Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga,
era ateeka amawanga wansi wange;
Zabbuli 94:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
94 (A)Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
Zabbuli 149:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 bawoolere eggwanga,
babonereze n’amawanga,
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.