Balam 5:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)“Mukama, bwe wava e Seyiri,
bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala,
ensi n’ekankana, enkuba n’eyiika okuva mu ggulu.
Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.
Zabbuli 97:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Okumyansa kwe kumulisa ensi;
ensi n’ekulaba n’ekankana.
Zabbuli 77:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
Yobu 26:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 Empagi z’eggulu zikankana,
zeewuunya olw’okunenya kwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.