Danyeri 10:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana n’omulangira w’e Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu n’ajja n’annyamba, kubanga kabaka w’e Buperusi yali ankwatidde eyo.
Read full chapter
Danyeri 9:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Otuukirizza ebigambo bye watwogerako, n’eri abakulembeze baffe, bw’otuleeseeko akabi akanene; era wansi w’eggulu tewabangawo kintu kinene bwe kityo ekyakolebwa, ng’ekyo ekituuse ku Yerusaalemi.
Read full chapter
Matayo 24:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana.
Read full chapter
Makko 13:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Kubanga ekiseera ekyo kiriba kya kubonyaabonyezebwa okutabeerangawo kasookedde Katonda atonda eggulu n’ensi, n’okutuusa kaakano n’emirembe egigenda okujja.
Read full chapter
Okubikkulirwa 16:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Awo ne walabika okumyansa kw’eggulu n’okubwatuka ne musisi ow’entiisa atabangawo ku nsi.
Read full chapter
Okuva 32:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Bw’oba osiima basonyiwe ekibi kyabwe; naye bwe kitaba kityo, nkwegayirira onsangule mu kitabo kyo ky’owandiise.”
Read full chapter
Zabbuli 56:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;
amaziga gange gateeke mu ccupa yo!
Wagawandiika.
Yeremiya 30:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!
Tewali lulirufaanana.
Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo,
naye aliwona n’akiyitamu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.