Ebyabaleevi 10:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)“Lwaki ekiweebwayo ekyo olw’ekibi temwakiriiridde, wali awatukuvu? Kitukuvu nnyo. Kyabaweereddwa kiryoke kiggyiseeko abantu bonna ebibi byabwe, nga mmwe mubatangiririra awali Mukama Katonda.
Read full chapter
Ebyabaleevi 22:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Bwe batyo bakabona kibagwanira okukuumanga ebiragiro byange, balemenga okwereetako omusango ne bafa olw’okubigayaaliriranga. Nze Mukama Katonda abatukuza.
Read full chapter
Ebyabaleevi 22:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)nga babakkiriza okulyanga ku biweebwayo byabwe ebitukuvu, bwe batyo ne babateekesaako omusango ogunaabaweesanga ekibonerezo. Nze Mukama Katonda abatukuza.”
Read full chapter
Okubala 18:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Emirimu gya Bakabona n’egy’Abaleevi
18 (A)Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Ggwe, ne batabani bo, n’ab’omu kika kyo bonna, mmwe munaavunaanyizibwanga olw’emisango eginazzibwanga ku watukuvu; era ggwe ne batabani bo mwekka mmwe muneetikkanga obuvunaanyizibwa ku misango eginazzibwanga ku bwakabona.
Read full chapter
Abaebbulaniya 9:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)era ne Kristo bw’atyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi by’abantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.
Read full chapter
1 Peetero 2:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.