Ekyamateeka Olwokubiri 11:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Mutegeere nga ku lunaku lwa leero soogera na baana bammwe abataamanya era abataalaba ku kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, n’ekitiibwa kye n’omukono gwe ogw’amaanyi, era ogw’obukuumi;
Read full chapter
Okuva 15:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ani akufaanana, Ayi Mukama,
mu bakatonda bonna?
Ani akufaanana, ggwe,
Omutukuvu Oweekitiibwa,
atiibwa era atenderezebwa,
akola ebyamagero?
Zabbuli 86:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;
era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
Zabbuli 71:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda,
era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
Zabbuli 71:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu.
Ggw’okoze ebikulu,
Ayi Katonda, ani akwenkana?
2 Samwiri 7:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)“Ng’oli mukulu, Ayi Mukama Katonda! Tewali akwenkana, era tewali Katonda wabula ggwe, nga bwe twewuliridde n’amatu gaffe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.