Ekyamateeka Olwokubiri 14:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebiragiro ku Kitundu Ekimu eky’Ekkumi
22 (A)Buli lw’onookungulanga ebibala byo nga biva mu nnimiro yo buli mwaka, weegenderezanga n’ossangako wabbali ekitundu kyabyo eky’ekkumi.
Read full chapter
Malaki 3:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)“Omuntu alinyaga Katonda?
“Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’
“Mu biweebwayo ne mu kimu eky’ekkumi.
Read full chapter
Ebyabaleevi 27:30-33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okununula Ebitundu Eby’ekkumi
30 (A)“Buli kitundu eky’ekkumi ekiva mu nsi, gamba ku mmere ey’empeke eva mu ttaka, oba ku bibala ebiva ku miti, kya Mukama Katonda, era kitukuvu eri Mukama Katonda. 31 Omuntu anaayagalanga okununula ku bitundu bye eby’ekkumi, anaagatangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwakyo. 32 (B)Ebitundu eby’ekkumi byonna ebyamagana g’ente n’eby’ebisibo by’endiga, kwe kugamba nti buli nsolo omusumba gy’anaabalanga nga ya kkumi, eneebanga ntukuvu eri Mukama Katonda. 33 (C)Tasaaniranga kulondamu nnungi ng’alekawo embi, oba okuwaanyisa. Bw’anaawaanyisanga ng’olwo ensolo zombi, eri n’eno ewanyisizibbwa zinaafuukanga ntukuvu teziinunulibwenga.”
Read full chapter
Abaebbulaniya 7:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)N’abo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu eky’ekkumi ng’etteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.