Ekyamateeka Olwokubiri 16:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)wadde okuyimirizangawo empagi ey’amayinja ey’okusinzanga; kubanga ebyo byonna Mukama Katonda wo tabyagala abikyayira ddala.
Read full chapter
2 Bassekabaka 17:9-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Abayisirayiri ne bakolanga mu nkizo ebyo ebitaali birungi mu maaso ga Mukama. Ne bazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, okuviira ddala ku minaala omwabeeranga abakuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe. 10 (B)Ne beesimbira empagi ez’amayinja n’eza Baasera, ku buli kasozi akawanvu, ne wansi wa buli muti.
Read full chapter
Ezeekyeri 16:24-25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)weezimbira ekifo ekigulumivu ne weekolera n’essabo mu buli kibangirizi ekigazi eky’ekibuga. 25 (B)Buli luguudo we lusibuka, wazimbawo essabo lyo, n’okolerawo obwenzi, ng’owaayo omubiri gwo mu bukaba obungi eri buli eyayitangawo.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 12:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Muzikiririzanga ddala ebifo byonna ebiri ku gasozi ne ku nsozi, ne wansi w’agati aganene,
Read full chapter
Isaaya 57:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Mwaka ne mwegombera wansi w’emiti
na buli wansi wa buli muti oguyimiridde;
mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvu
ne wansi w’enjatika z’enjazi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.