Eseza 4:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Kubanga ggwe bw’onoosirika mu kiseera kino, okubeerwa n’okulokolebwa kw’Abayudaaya kuliva awalala, naye ggwe n’ennyumba ya Kitaawo mulizikizibwa. Ate ani amanyi obanga wafuulibwa Nnabagereka lwa kiseera kino?”
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 25:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Bw’olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’akumazeeko n’abalabe bo bonna ku njuyi zonna, ng’owummudde, ozikiririzanga ddala Abamaleki n’obamalirawo ddala bonna wansi w’eggulu, ne watabaawo baliddayo kubajjukira nti baali babaddewo. Ekyo tokyerabiranga.
Read full chapter
1 Ebyomumirembe 4:43
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
43 (A)Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.