Ezeekyeri 9:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)n’amugamba nti, “Genda ng’oyitaayita mu kibuga kyonna ekya Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by’abeesisiwadde era abanakuwadde olw’ebintu byonna eby’ekivve ebikolebwa wakati mu kyo.”
Read full chapter
Ezeekyeri 9:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Mutte abasajja abakadde, abavubuka n’abawala, n’abakyala n’abaana abato, naye temukwata ku aliko akabonero. Mutandikire mu watukuvu wange.” Ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso ga yeekaalu.
Read full chapter
Olubereberye 4:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu,
mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”
Zabbuli 79:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira,
bawalane emirundi musanvu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.