Isaaya 10:3-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
4 (B)Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
oba okuba mu abo abattiddwa.
Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,
era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Ezeekyeri 23:40
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
40 (A)“Baatuma ababaka okuleeta abasajja okuva ewala ennyo, era bwe baatuuka, ne munaaba ku lwabwe ne mweyonja mu maaso, ne mwambala n’amayinja ag’omuwendo omungi.
Read full chapter
2 Bassekabaka 9:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okufa kwa Yezeberi
30 (A)Yeeku n’agenda Yezeberi gye yali, Yezeberi n’akimanya, n’asiiga amaaso ge, n’alongoosa enviiri ze, n’atunula ebweru ng’asinziira mu ddirisa.
Read full chapter
Okukungubaga 1:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Ekiro akaaba nnyo nnyini,
n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge.
Mu baganzi be bonna,
talina n’omu amubeesabeesa.
Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe,
bafuuse balabe be.
Ezeekyeri 23:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)“Kyenava muwaayo eri baganzi be Abasuuli, be yakabawalanga nabo.
Read full chapter
Ezeekyeri 23:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)“Kale ggwe Okoliba, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndikuma mu baganzi bo omuliro, ne bakulumba ku njuyi zonna:
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.