Isaaya 20:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi.
Read full chapter
Isaaya 43:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.
Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,
era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.
Ekyamateeka Olwokubiri 2:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Abavi abaabeeranga mu byalo ebyesuddeko okutuuka e Gaza, Abakafutoli abaava e Kafutoli bajja ne babazikiriza ne batwala ensi yaabwe bo ne bagibeeramu.
Read full chapter
Yeremiya 47:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Kubanga olunaku lutuuse
okuzikiriza Abafirisuuti bonna,
n’okusalako bonna abandisigaddewo
abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.
Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti
abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.
2 Bassekabaka 16:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Awo kabaka w’e Bwasuli n’awulira okwegayirira kwe, n’alumba Ddamasiko, n’akiwamba, n’abantu abaabeerangamu n’abaweereza mu buwaŋŋanguse e Kiri, era n’okutta n’atta Lezini.
Read full chapter
Isaaya 22:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,
n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,
Kiri[a] asabuukulula engabo.
Footnotes
- 22:6 Kiri Kifo ekisangibwa mu Bwasuli
Amosi 1:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasiko
era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni,
oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni.
Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,”
bw’ayogera Mukama.
Amosi 2:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Nakuggya mu nsi y’e Misiri,
ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu,
weetwalire ensi y’Abamoli.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.