Isaaya 30:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.
Read full chapter
Isaaya 61:1-3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amawulire Amalungi ag’Obulokozi
61 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
n’abasibe bateebwe
bave mu makomera.
2 (B)Okulangirira omwaka gwa Mukama
ogw’okulabiramu obulungi bwe;
olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga
era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.
3 (C)Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga,
okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu,
n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku.
Ekyambalo ky’okutendereza
mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa
balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama,
balyoke baweebwe ekitiibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.