Isaaya 46:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo.
Okuva ku mirembe egy’edda ennyo,
nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo
era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
Isaaya 53:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe.
Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe.
Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe.
Ebiwundu bye, bye bituwonya.
Isaaya 53:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike.
Tetwayagala na kumutunulako,
ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo,
bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.
Zabbuli 22:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Ezadde lyabwe lirimuweereza;
abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.