Isaaya 55:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abalumwa Ennyonta Bayitibwa
55 (A)“Kale mujje,
mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi.
Mujje mmwe abatalina ssente zigula,
mujje muweebwe bye mwagala,
envinnyo oba amata ebitali bya kugula
ebitaliiko miwendo gya kusasula.
Isaaya 55:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya
muteganira ebyo ebitakkusa?
Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi,
emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.
Matayo 5:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Balina omukisa abalumwa enjala olw’obutuukirivu
kubanga abo balikkusibwa.
Isaaya 61:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Okulangirira omwaka gwa Mukama
ogw’okulabiramu obulungi bwe;
olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga
era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.
Isaaya 61:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga,
okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu,
n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku.
Ekyambalo ky’okutendereza
mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa
balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama,
balyoke baweebwe ekitiibwa.
Matayo 5:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Balina omukisa abali mu nnaku,
kubanga abo balisanyusibwa.
Okubikkulirwa 7:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.