Kaabakuuku 1:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi,
so toyinza kugumiikiriza bukyamu.
Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe,
n’osirika ng’omubi amalirawo ddala
omuntu amusinga obutuukirivu?
Yeremiya 20:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Buli lwe njogera,
ndeekaana ne nnangirira akatabanguko n’okuzikirira.
Kale ekigambo kya Mukama kindeetera
kuvumwa na kusekererwa buli lunaku.
Zabbuli 55:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;
kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.