Lukka 19:41-44
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yesu Akaabira Yerusaalemi
41 (A)Awo Yesu bwe yali ng’asemberera ekibuga Yerusaalemi, bwe yakirengera, n’akikaabira. 42 N’agamba nti, “Singa otegedde leero ebireeta emirembe ebyakulagirwa! Naye kaakano bikukwekeddwa, amaaso go tegayinza kubiraba. 43 (B)Ekiseera kigenda kutuuka abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo okukwetooloola ne bakuzinda, 44 (C)ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.”
Read full chapter
Lukka 21:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 Nga ziribasanga abakazi abaliba embuto n’abayonsa! Kubanga eggwanga liribonaabona, n’abantu baalyo balisunguwalirwa.
Read full chapter
Lukka 21:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Abamu balittibwa n’ekitala ky’omulabe, abalala balikwatibwa ne bawaŋŋangusibwa mu mawanga gonna amalala ag’oku nsi. Yerusaalemi kiriwangulwa bannaggwanga ne bakirinnyirira okutuusa ekiseera kyabwe eky’obuwanguzi lwe kirikoma mu kiseera Katonda ky’aliba ateesezza.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.