Okubala 14:6-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe[a], 7 (A)ne bagamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Ensi gye twayitaayitamu okugiketta, nsi nnungi nnyo. 8 (B)Mukama Katonda bw’aliba atusanyukidde, alitukulembera n’atutuusa mu nsi eyo, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, era agenda kugituwa. 9 (C)Kyokka temujeemera Mukama Katonda, era n’abantu b’omu nsi omwo temubatya, kubanga kuliba kumenya mu jjenje kkalu; tebakyalina abakuuma, ate nga Mukama Katonda ali wamu naffe. Temubatya.”
Read full chapterFootnotes
- 14:6 ne bayuzaayuza engoye zaabwe kaali kabonero ak’okukaaba n’okulaga obusungu.
Yoswa 14:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Naye baganda bange be nnali nabo ne baleteera emitima gy’abantu okuggwaamu amaanyi olw’okutya, wabula nze nagoberera Mukama Katonda wange n’omutima gwange gwonna.
Read full chapter
Yoswa 14:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 Olusozi Kebbulooni ne lufuuka lwa Kalebu mutabani wa Yefune ne leero, kubanga yagoberera ddala Mukama Katonda wa Isirayiri.
Read full chapter
Okubala 32:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)tewalibaawo n’omu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi[a], ne Yoswa mutabani wa Nuuni, kubanga abo baagondera Mukama Katonda n’omutima gwabwe gwonna.’
Read full chapterFootnotes
- 32:12 Okusinziira ku Olubereberye 15:19 ne 36:11 Abakenizi baali Bakanani, era nga bazzukulu ba Esawu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.