Okubikkulirwa 7:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
1 Abakkolinso 15:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa.
Read full chapter
Okubikkulirwa 20:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro, kuno kwe kufa okwokubiri.
Read full chapter
Isaaya 35:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba,
n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde.
Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza,
okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.
Isaaya 65:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Ndijaguza olwa Yerusaalemi
era nsanyukire abantu bange;
amaloboozi ag’okukaaba
tegaliddayo kuwulirwamu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.