Okuva 12:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 Omusaayi ke kaliba akabonero akalaga ennyumba mwe muli; era bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako; so n’okuzikirira kwe ndireeta ku Bamisiri mmwe tekulibakwatako.
Read full chapter
Okuva 12:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Kubanga Mukama ajja kuyita awo ng’agenda okutta Abamisiri; kale bw’anaalaba omusaayi ku mwango gw’oluggi waggulu ne ku mwango mu mbiriizi z’oluggi, oluggi olwo Mukama ajja kuluyitako, era tajja kukkiriza oyo azikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe n’okubatta.
Read full chapter
Okuva 12:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, kubanga yayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, n’awonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’ ” Awo abantu ne bavuunama ne basinza.
Read full chapter
Matayo 26:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olukwe olw’Okutta Yesu
26 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti,
Read full chapter
Matayo 26:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)“Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga ey’Okuyitako. Omwana w’Omuntu aliweebwayo akomererwe.”
Read full chapter
Makko 14:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Omukazi Asiiga Yesu Amafuta ag’Omuwendo
14 (A)Embaga ey’Okuyitako[a], kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte.
Read full chapterFootnotes
- 14:1 Embaga ey’Okuyitako: Mbaga ya Bayudaaya ejjukirirwako olunaku Malayika wa Mukama lwe yatta abaana ba Misiri ababereberye mu Misiri, kyokka n’alekawo Abayisirayiri. Abaana b’endiga oba ab’embuzi battibwanga ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi gwa Nisani (Maaki-Apuli) mu kukwata embaga eyo. Omukolo ogwo gwatandikibwanga mu ssaawa ez’akawungeezi ng’enjuba egoloobye ne guggwa ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro
Yokaana 13:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yesu Anaaza Abayigirizwa be Ebigere
13 (A)Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 30:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Bangi ku bo, baali tebeetukuzizza nga tebasobola kuwaayo ndiga zaabwe; Abaleevi kyebaava battira buli muntu ataali mulongoofu Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako, okubatukuza eri Mukama.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 30:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Newaakubadde ng’abantu abasinga abaava mu Efulayimu, ne Manase, ne Isakaali, ne Zebbulooni baali tebeetukuzizza, baalya Embaga ey’Okuyitako, ekyali tekikkiriziganya na biwandiike. Naye Keezeekiya n’abasabira ng’agamba nti, “Mukama omulungi asonyiwe buli muntu
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.