Okuva 23:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)“Tokolagananga na kibiina ky’omanyi nga bye kiriko bikyamu. Bw’obanga owa obujulirwa mu musango, tokkirizanga kusikibwa kibiina ne kikuweesa obujulizi obw’obulimba nga weekubira ku ludda lwe kiriko;
Read full chapter
Okuva 23:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)“Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba omuntu amaaso n’ekyamya n’abatuukirivu.
Read full chapter
Ebyabaleevi 19:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)“Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 1:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Musalenga emisango awatali kyekubiira; abagagga n’abaavu nga mubawuliriza kyenkanyi. Endabika y’omuntu tebatiisanga, kubanga Katonda y’asala emisango gyonna. Bwe wabangawo omusango gwonna omukakanyavu muguleetanga gye ndi, nze nnaaguwuliranga.’
Read full chapter
Omubuulizi 7:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru,
n’enguzi efaafaaganya okutegeera.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.