Olubereberye 9:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.
Read full chapter
Okubikkulirwa 10:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Malayika n’Omuzingo gw’Ekitabo Omutono
10 (A)Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu nga yeetooloddwa ekire, ng’ayambadde musoke ku mutwe gwe; amaaso ge nga gaakaayakana ng’enjuba ate ebigere bye nga byaka ng’omuliro.
Read full chapter
Okubikkulirwa 4:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe ey’obwakabaka ng’etegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko.
Read full chapter
Ezeekyeri 8:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Era awo we waali ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri, ng’okwolesebwa kwe nalaba mu kyererezi.
Read full chapter
Ezeekyeri 3:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Ne nsituka ne ndaga ku ttale. Ekitiibwa kya Mukama kyaliwo, nga kifaanana ekitiibwa kye nalaba ku Mugga Kebali; ne neeyala wansi.
Read full chapter
Danyeri 8:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Awo n’asembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye n’aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w’omuntu, ng’okwolesebwa, kwogera ku biro eby’enkomerero.”
Read full chapter
Okubikkulirwa 1:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ng’afudde, kyokka ye n’anteekako omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero,
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.