Omubuulizi 2:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Nanoonyereza n’omutima gwange, bwe nnaasanyusa omubiri gwange n’omwenge, nga nkyagoberera okunoonya amagezi. Nayagala okulaba abantu kyebasaanira okukola wansi w’enjuba mu nnaku ez’obulamu bwabwe entono.
Read full chapter
Zabbuli 34:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
okuba mu ssanyu emyaka emingi?
Ekyamateeka Olwokubiri 12:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 12:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ekyo Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde; ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi anaabanga mu bibuga byo, era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu buli kintu kyonna ky’onoobanga okoze n’emikono gyo.
Read full chapter
Omubuulizi 2:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Tewali kisingira muntu kulya na kunywa na kusanyukira mu ebyo by’akola. Na kino nkiraba, kiva mu mukono gwa Katonda,
Read full chapter
Omubuulizi 5:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.