Yeremiya 26:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)“Mikka ow’e Moreseesi yawa obunnabbi mu nnaku za Keezeekiya kabaka wa Yuda. Yagamba abantu bonna aba Yuda nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“ ‘Sayuuni ajja kulimibwa ng’ennimiro,
Yerusaalemi ajja kufuuka ntuumu ya mafunfugu,
olusozi lwa yeekaalu, lufuuke akasozi akamezeeko ebisaka.’
1 Ebyomumirembe 3:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Amaziya nga ye mutabani wa Yowaasi,
ne Azaliya nga ye mutabani wa Amaziya,
ne Yosamu nga ye mutabani wa Azaliya.
1 Ebyomumirembe 3:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Akazi yali mutabani wa Yosamu,
ne Keezeekiya nga ye mutabani wa Akazi,
ne Manase nga ye mutabani wa Keezeekiya.
Koseya 1:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
1 (A)Buno bwe bubaka bwa Mukama bwe yawa Koseya mutabani wa Beeri mu mulembe gwa Uzziya, n’ogwa Yosamu, n’ogwa Akazi n’ogwa Keezeekiya, nga be bakabaka ba Yuda, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Isirayiri.
Read full chapter
Isaaya 1:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
1 (A)Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.