Yobu 11:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola?
Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya?
Zabbuli 77:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
wayita mu mazzi amangi,
naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.
Abaruumi 11:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Kale nga Katonda wa kitalo,
ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi;
ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.