Yobu 30:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu;
nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
Yobu 9:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi.
Abikka ku maaso g’abagiramula.
Bw’aba nga si Mukama, kale ani?
Kaabakuuku 1:2-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Kaabakuuku yeemulugunya olw’Obutali Bwenkanya
2 (A)Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira
naye nga tompuliriza?
Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,”
naye n’otonnyamba?
3 (B)Lwaki ondaga obutali bwenkanya
era lwaki ogumiikiriza obukyamu?
Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange,
empaka n’ennyombo byeyongede.
4 (C)Amateeka kyegavudde gatagonderwa
era n’obwenkanya ne butakolebwa.
Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde,
n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.