Yoswa 13:15-21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ensi ya Lewubeeni
15 Musa yagabira ekika ky’abaana ba Lewubeeni ng’enju zaabwe bwe zaali:
16 (A)Ensalo yaabwe ng’eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu eky’Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna oluliraanye Medeba, 17 (B)ne Kesuboni, n’ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi, ne Diboni ne Bamosi Baali, ne Besubaalumyoni; 18 (C)ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi; 19 (D)ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw’Ekiwonvu, 20 (E)ne Besupyoli ne Pisuga awayambukirwa ku lusozi, ne Besu Yesimosi, 21 (F)n’ebibuga byonna eby’omu lusenyi, n’obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugira mu Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu n’abaami abaali bafuga ab’e Midiyaani, eri ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, n’abalangira ba Sikoni abaabeeranga mu nsi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.