Yoswa 8:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Ate n’atta kabaka wa Ayi n’amuwanika ku muti okutuusa akawungeezi lwe baawanulayo omulambo gwe ne bagusuula awo ku wankaaki w’ekibuga ne bagutuumako entuumu y’amayinja era ekyaliyo ne kaakano.
Read full chapter
Yoswa 10:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Enjuba bwe yamala okugwa Yoswa n’alagira emirambo ne giwanulwa ku miti ne gisuulibwa mu mpuku bakabaka bano mwe basooka okwekukuma, ne bayiringisa agayinja aganene ne bagasaanikira ku mumwa gw’empuku n’okutuusa kaakano amayinja ago gakyaliko.
Read full chapter
Yokaana 19:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
31 (A)Olunaku nga bwe lwali olw’okweteekerateekera Ssabbiiti eyo enkulu ennyo, abakulembeze b’Abayudaaya ne batayagala mirambo kusigala ku misaalaba. Kyebaava basaba Piraato abaakomererwa bamenyebwe amagulu era bawanulweyo.
Read full chapter
Abaggalatiya 3:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.”
Read full chapter
Ebyabaleevi 18:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)n’ensi n’efuuka etali nnongoofu, ne ngibonereza olw’ebyonoono byayo, n’abantu baamu abagibeeramu n’ebasesema.
Read full chapter
Okubala 35:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Temwonoonanga nsi mwe mubeera nange mwe mbeera, kubanga Nze, Mukama Katonda, mbeera wakati mu baana ba Isirayiri.’ ”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.