Zabbuli 12:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
Bigeraageranyizibwa n’effeeza
erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.
Zabbuli 18:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Katonda byonna by’akola bigolokofu;
Mukama ky’asuubiza akituukiriza;
era bwe buddukiro
bw’abo bonna abamwekwekamu.
Olubereberye 15:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Endagaano ya Mukama ne Ibulaamu
15 (A)Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti,
“Totya Ibulaamu,
Nze ngabo yo
era empeera yo ennene ennyo.”
Zabbuli 84:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.