1 Ebyomumirembe 24:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, n’awandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n’abakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, n’abakulu b’ennyumba za bakabona, n’Abaleevi, ennyumba emu ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali.
Read full chapter
2 Samwiri 8:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Zadooki[a] mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali nga be bakabona, Seroya nga ye muwandiisi,
Read full chapterFootnotes
- 8:17 Zadooki yali muzzukulu wa Eriyazaali. Yasigala nga musajja wa Dawudi ow’oku lusegere, era oluvannyuma ye yafuka n’amafuta ku musika wa Dawudi, Sulemaani
Ebyabaleevi 24:5-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)“Ojja kuddiranga obuwunga bw’eŋŋaano obulungi ofumbe emigaati kkumi n’ebiri ng’okozesa desimoolo bbiri eza efa[a]. 6 (B)Onoogitegekanga mu nnyiriri bbiri nga mu buli lunyiriri mulimu emigaati mukaaga. Onoogiteekanga ku mmeeza eya zaabu omuka awali Mukama. 7 (C)Era ku buli lunyiriri onooteekangako obubaane obuka nga bugendera wamu n’emigaati nga kye kijjukizo eky’ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro. 8 (D)Emigaati egyo ginaategekebwanga awali Mukama buli Ssabbiiti awatali kwosa, ng’ekyo kikolebwa ku lw’abaana ba Isirayiri nga ye ndagaano ey’emirembe n’emirembe. 9 (E)Emigaati egyo ginaabanga gya Alooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga giva ku kiweebwayo ekitukuvu ennyo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro nga kye kiragiro eky’enkalakkalira.”
Read full chapterFootnotes
- 24:5 Efa ezo ze liita nnya n’ekitundu
1 Samwiri 21:1-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Dawudi ng’ali e Nobu
21 (A)Dawudi n’agenda e Nobu eri Akimereki kabona. Akimereki n’ajja ng’akankana okusisinkana Dawudi, n’amubuuza nti, “Lwaki oli wekka? Tewali muntu mulala ali wamu naawe?” 2 Dawudi n’addamu Akimereki kabona nti, “Kabaka alina ensonga gye yantumye, n’aŋŋamba nti, ‘Tewaba n’omu amanya ku nsonga eno, era n’ebiragiro bye nkuwadde.’ Abasajja bange mbagambye we banansisinkana. 3 Kale nno kiki ky’olina wo? Mpaayo emigaati etaano, oba kyonna ky’olinawo.”
4 (B)Kabona n’addamu Dawudi nti, “Sirinaawo migaati gya bulijjo okuggyako emigaati egyatukuzibwa, wabula nga abasajja bo beetukuza era nga beekuumye obuteetaba na bakazi.” 5 (C)Dawudi n’amugamba nti, “Abakazi tebabeera naffe, era bulijjo bwe kitera okuba bwe tugenda ku mulimu. Emibiri gy’abasajja giba mitukuvu ne bwe baba ku ŋŋendo eza bulijjo. Kale obanga tutera okwekuuma, olowooza leero emibiri gyabwe tegisinga nnyo kuba mitukuvu?” 6 (D)Awo kabona n’amuwa emigaati egyatukuzibwa kubanga tewaaliwo migaati mirala wabula emigaati egy’Okulaga egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, buli lunaku nga giwoze, egibuguma ne gissibwawo mu kifo kya gyo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.