1 Ebyomumirembe 8:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Neeri n’azaala Kiisi, ne Kiisi n’azaala Sawulo, ne Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.
1 Samwiri 9:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Samwiri Afuka ku Sawulo Amafuta
9 (A)Waaliwo omusajja Omubenyamini eyali omututumufu erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afiya, Omubenyamini.
Read full chapter
1 Samwiri 13:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Era ku lunaku olw’olutalo tewaali muserikale n’omu ku baali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani[a].
Read full chapterFootnotes
- 13:22 Abayisirayiri baalwanyisanga mitego na busaale
2 Samwiri 2:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olutalo Olwabaawo Wakati w’Ennyumba ya Dawudi n’Ennyumba ya Sawulo
8 (A)Mu biro ebyo, Abuneeri[a] mutabani wa Neeri, omuduumizi w’eggye lya Sawulo, n’atwala Isubosesi mutabani wa Sawulo e Makanayimu.
Read full chapterFootnotes
- 2:8 Abuneeri yalina oluganda ku Sawulo, era yafuba nnyo okulwanirira obwakabaka bwa Sawulo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.