Yakobo 1:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Noolwekyo, abooluganda abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga.
Read full chapter
Yakobo 1:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuwuliriza n’okukola
19 (A)Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga.
Read full chapter
1 Abakkolinso 1:26-28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli b’amaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa. 27 (A)Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi, 28 (B)era n’alonda abakopi ab’ensi n’abo abanyoomebwa; era n’ebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo,
Read full chapter
Lukka 12:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)“Bwe kityo bwe kiriba eri buli muntu eyeeterekera, so nga mwavu eri Katonda.”
Read full chapter
Yakobo 1:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.