Zabbuli 69:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
Yobu 12:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange.
Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu,
ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango!
Okukungubaga 3:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna,
era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.
Okukungubaga 3:63
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
63 Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;
bannyooma nga bwe bannyimbirira.
Yobu 17:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu,
anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.