Zabbuli 73:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
Isaaya 41:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Kubanga nze Mukama Katonda wo
akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
Totya nze nzija kukuyamba.
Isaaya 42:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)“Nze Mukama,
nakuyita mu butuukirivu.
Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma.
Ndikufuula okuba endagaano eri abantu,
era omusana eri bannamawanga.
Yeremiya 50:35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
35 (A)“Ekitala kyolekedde Abakaludaaya,”
bw’ayogera Mukama,
“n’eri abo ababeera mu Babulooni,
n’abakungu baabwe n’abasajja baabwe abajjudde amagezi!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.